KITALO! Enkoko etisizza omusajja, Poliisi eyagala kukwata kyalo kiramba

©GALAXY

Abatuuze ku byalo ebyenjawulo okuli Central Cell mu town council y’e Botogota ne Bugonga mu Town Concil y’e Kihihi mu disitulikiti y’e Kanungu bakubyekubye omusajja emiggo, bulooka, emigo, bulooka, ebikonde n’ensambagere ebimutiddewo lwa kubba mu kitundu kyabwe. Ssemaka Micheal Tumwesigye yatiddwa enkya ya leero, ng’asangiddwa ng’abba enkoko z’omutuuze ku kyalo kye Butogota. Enduulu esanikidde ekyalo […]


Abatuuze ku byalo ebyenjawulo okuli Central Cell mu town council y’e Botogota ne Bugonga mu Town Concil y’e Kihihi mu disitulikiti y’e Kanungu bakubyekubye omusajja emiggo, bulooka, emigo, bulooka, ebikonde n’ensambagere ebimutiddewo lwa kubba mu kitundu kyabwe.
Ssemaka Micheal Tumwesigye yatiddwa enkya ya leero, ng’asangiddwa ng’abba enkoko z’omutuuze ku kyalo kye Butogota.

Atiddwa
Atiddwa

Enduulu esanikidde ekyalo kyona nga bawogana ennyo wuuyo wuuyo, nakwatibwa, nakubwa, okutuusa lw’afudde nga yenna ajudde omusaayi n’ebiwundu ku mutwe era omulambo gwe, gusulidwako enkoko.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza abantu bonna abatwalidde amateeka mu ngalo.