Abakyala mu kibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) bekokodde ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi ne Gavumenti, okuwuudisa n’okubuzabuza bannansi ku bakyala abasuuka 20 abatibwa mu disitulikiti y’e Wakiso mu bitundu okuli Nansana ne Ntebbe nga batugibwa nga basobezeddwako ne battibwa n’okubasonseka ebiti mu bitundu by’ekyama. Aba FDC, bagamba bukya bakyala batibwa, tebafunanga alipoota okuva […]
Abakyala mu kibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) bekokodde ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi ne Gavumenti, okuwuudisa n’okubuzabuza bannansi ku bakyala abasuuka 20 abatibwa mu disitulikiti y’e Wakiso mu bitundu okuli Nansana ne Ntebbe nga batugibwa nga basobezeddwako ne battibwa n’okubasonseka ebiti mu bitundu by’ekyama.
Aba FDC, bagamba bukya bakyala batibwa, tebafunanga alipoota okuva mu kitongole ekya Poliisi, wadde omuntu yenna eyali akwatiddwa, nasimbibwa mu maaso g’abalamuzi era n’asingisibwa omusango.
Abakyala mu FDC nga bakulembeddwamu Dr Stella Nyanzi bagamba nti bakooye okulinda n’okulimbibwa era y’essaawa abakyala bonna okuvaayo okubanja alipoota yabwe.
Abakyala banno babadde ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi okuwanda omuliro.
