Akaboozi katabudde abafumbo era omukyala akubye bba nasigala ng’atoonya musaayi. Abafumbo ku kyalo Ngamba II mu gombolola y’e Ngamba mu disitulikiti y’e Bundibugyo, balwanaganye olw’omukyala okulemesa bba Edmon Bakaswara myaka 38 okwesa empiki, okumala omwaka omulamba. Okusinzira ku ssentebbe w’ekyalo Siriwayo Baluku, Omukyala yagyeema okugabira bba omukwano ng’amulumiriza okumuzaalamu abaana kyoka nalemwa okumusasula eri bazadde. […]
Akaboozi katabudde abafumbo era omukyala akubye bba nasigala ng’atoonya musaayi.
Abafumbo ku kyalo Ngamba II mu gombolola y’e Ngamba mu disitulikiti y’e Bundibugyo, balwanaganye olw’omukyala okulemesa bba Edmon Bakaswara myaka 38 okwesa empiki, okumala omwaka omulamba.
Okusinzira ku ssentebbe w’ekyalo Siriwayo Baluku, Omukyala yagyeema okugabira bba omukwano ng’amulumiriza okumuzaalamu abaana kyoka nalemwa okumusasula eri bazadde.
Kigambibwa ku lunnaku olwa Ssande akawungeenzi, Ssemaka yatabukidde omukyala nasaba ebintu nga yenna atamidde, ekyavirako omukyala okumukubakuba era mu kiseera kino ali ddwaliro lye Kikyo, nga yafunye ekiwundu ku Mutwe.
Ate ye omukyala ali mu kaduukulu ka Poliisi e Bundibugyo, nga Poliisi bwe mu maaso n’okunoonyereza.
Aduumira Poliisi mu kitundu ekyo, Taban Swaibu avumiridde ekya abafumbo okutwalira amateeka mu ngalo n’okulemwa okweyambisa Poliisi okugonjoola ensonga zabwe.
