AUDIO! Okuwuliriza omusango gwa ASP Kirumira bijjulide, taata ayogedde ebikankana

©GALAXY

Okuwuliriza omusango oguvunanibwa eyali aduumira Poliisi y’e Buyende Muhammad Kirumira, teguwuliddwa enkya ya leero, era gwongezeddwayo okutuusa ku lunnaku Olwokuna sabiti eno nga 22. Kirumira abadde ateekeddwa okuleetebwa enkya ya leero mu kkooti ya Poliisi e Naguru, okuddamu okuwuliriza emisango egimuvunanibwa omuli okulya enguzi, okufuna ssente mu lukujukuju n’okutambuza emirimu gye mu ngeri emenya amateeka. […]


Okuwuliriza omusango oguvunanibwa eyali aduumira Poliisi y’e Buyende Muhammad Kirumira, teguwuliddwa enkya ya leero, era gwongezeddwayo okutuusa ku lunnaku Olwokuna sabiti eno nga 22.

Taata wa Kirumira mu galumbindi
Taata wa Kirumira mu galumbindi

Kirumira abadde ateekeddwa okuleetebwa enkya ya leero mu kkooti ya Poliisi e Naguru, okuddamu okuwuliriza emisango egimuvunanibwa omuli okulya enguzi, okufuna ssente mu lukujukuju n’okutambuza emirimu gye mu ngeri emenya amateeka.
Wabula kkooti ya Poliisi, tesobodde kutuula, nga kivudde ku memba wabwe omu obutabaawo ate ng’abaliwo abalina olukiiko lwe bageendamu, ekiwaliriza ssentebbe wa kkooti Denis Odongpiny, okwongezaayo omusango gwe, okutuusa ku Lunnaku olwokuna sabiti eno.
Bannamawulire basobeddwa
Bannamawulire basobeddwa

Wabula, bbo bannamawulire enkya ya leero, baganiddwa okwesoga ekifo kkooti wetekeddwa okutuula, okulindirira ebiyinza okuddako singa Kirumira abadde aleteddwa.