Katonde Philomena Bannakibiina kya Democratic Party (DP) bawanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino era ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni, okuvayo bunambiro, okulwanyisa obutakanya obuli mu bitongole ebikuuma ddembe kuba singa tekikolebwa, eggwanga liyinza obutabanguka. Aba DP nga bakulembeddwamu omuwandiisi w’ensonga z’obwa Pulezidenti Fred Mwesigwa, balabudde nti obutakanya obuli mu bitongole ebikuuma ddembe n’okusingira ddala ekya […]
Katonde Philomena
Bannakibiina kya Democratic Party (DP) bawanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino era ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni, okuvayo bunambiro, okulwanyisa obutakanya obuli mu bitongole ebikuuma ddembe kuba singa tekikolebwa, eggwanga liyinza obutabanguka.

Aba DP nga bakulembeddwamu omuwandiisi w’ensonga z’obwa Pulezidenti Fred Mwesigwa, balabudde nti obutakanya obuli mu bitongole ebikuuma ddembe n’okusingira ddala ekya Poliisi, bangi ku bannayuganda bayinza okutibwa, ng’abantu abakyamu beyambisa omukisa ogwo.
Mwesigwa bw’abadde ayogerako eri bannamawulire kw’offisi z’ekibiina ku City House mu Kampala, agambye nti ensonga y’ebyokwerinda terina kuzanyirwamu.
Kinajjukirwa sabiti ewedde Mukulu Museveni bwe yali mu maka g’e Kawumu mu disitulikiti y’e Luweero, yategeeza nti abakulu mu bitongole ebikuuma ddembe okuli ekya Uganda People’s Defence Force (UPDF) n’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya the Chieftaincy of Military Intelligence (CMI), balina obutakanya era nasuubiza okukikwasaganya.
