Omwaka 2016, ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino, Yoweri Kaguta Museveni yayamba abatunda ebibajje mu bitundu bye Nsambya, abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Nsambya Carpentry and Crafts SACCO n’obukadde 270, okwekulakulanya. Ensimbi ezo, baali bateekeddwa okwewola, okutambuza emirimu gyabwe n’okufuna ebyuma okwanguyirwa mu kutambuza emirimu. Wabula bangi ku bafuuna ku nsimbi ezo, abasiimye […]
Omwaka 2016, ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino, Yoweri Kaguta Museveni yayamba abatunda ebibajje mu bitundu bye Nsambya, abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Nsambya Carpentry and Crafts SACCO n’obukadde 270, okwekulakulanya.
Ensimbi ezo, baali bateekeddwa okwewola, okutambuza emirimu gyabwe n’okufuna ebyuma okwanguyirwa mu kutambuza emirimu.

Wabula bangi ku bafuuna ku nsimbi ezo, abasiimye Pulezidenti Museveni okubaduukirira, okutebenkeza emirimu gyabwe.
Bagamba basobodde okweyambisa ensimbi ezo okwekulakulanya era bbo, tebayinza kumwerabira.
Ate abalala, abali mulimu gwe gumu, balumiriza abakulu, abakulembera Sacco yabwe, okweza ensimbi zonna, era bbo tebaganyuddwa.
Ku nsonga y’emu Wilson Muhwezi, omwogezi wa babazi e Nsambya ate y’omu ku bali ku lukiiko oluwola ensimbi, agambye nti SACCO esobodde okuyamba abantu bangi ddala okutandiika emirimu n’okusingira abavubuka bamaliriza emisomo gyabwe.
Muhwezi era alumbaganye abagamba nti ssente zalibwa dda.
Agamba abantu okutya obukwakulizo obuli ku ssente y’emu ku nsonga lwaki bagamba nti ssente zalibwa.
