AUDIO! Poliisi yafa dda, tulina muzimu gwaayo, Minisita Nadduli awanjagidde Pulezidenti Museveni

©GALAXY

Minisita wa Gunonaguli mu Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Hajji Abdul Nadduli ayogedde amazima nti ekitongole kya Poliisi kyaffa dda era bangi ku bannayuganda tebakyayinza kuddamu ku kyesigga. Nadduli agamba nti Poliisi, esukiridde okweyingiza mu bintu ebitagikwatako omuli obutakanya ku ttaka era y’essaawa mukama we era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Museveni, okusindiika abasirikale bonna […]


Minisita wa Gunonaguli mu Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Hajji Abdul Nadduli ayogedde amazima nti ekitongole kya Poliisi kyaffa dda era bangi ku bannayuganda tebakyayinza kuddamu ku kyesigga.

Ekitongole kya Poliisi
Ekitongole kya Poliisi

Nadduli agamba nti Poliisi, esukiridde okweyingiza mu bintu ebitagikwatako omuli obutakanya ku ttaka era y’essaawa mukama we era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Museveni, okusindiika abasirikale bonna okuddayo okutendekebwa, bayingizibwe amaggye ate abamaggye abalungi bakirizibwe okutambuza emirimu gya Poliisi.