MULIMBA! Paul Rodgers asindikiddwa ku limanda, aguddwako emisango emikambwe

©GALAXY

Kkooti esindiise munnansi wa America ku limanda mu kkomera lye Kigo, okutuusa nga 19, March, 2018, okuwa oludda oluwaabi obudde nga lukulembeddwamu Julius Baganzi okomekereza okunoonyereza. Paul Rodgers mwana nzalwa mu kibuga Florida kyoka mu Uganda mutuuze ku kyalo Mawanyi, Bwebajja Kajjansi mu Disitulikiti y’e Wakiso. Bw’abadde asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Entebbe, Rodgers aguddwako emisango […]


Kkooti esindiise munnansi wa America ku limanda mu kkomera lye Kigo, okutuusa nga 19, March, 2018, okuwa oludda oluwaabi obudde nga lukulembeddwamu Julius Baganzi okomekereza okunoonyereza.
Paul Rodgers mwana nzalwa mu kibuga Florida kyoka mu Uganda mutuuze ku kyalo Mawanyi, Bwebajja Kajjansi mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Bw’abadde asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Entebbe, Rodgers aguddwako emisango egyenjawulo omuli okusangibwa ne by’okulwanyisa nga talina layisinsi, okusangibwa n’amasasi mu bukyamu n’okutulugunya omuntu (mukyala we).
Kigambibwa 18, March, 2017 Paul Rodgers ku kisaawe Entebbe yasangibwa n’ebyokulwanyisa omuli Pisito n’amasasi nga talina kiwandiiko kyona kimukiriza kutambula nabyo, ekintu ekimenya amateeka mu ggwanga lino.
Mungeri y’emu omulamuzi Mastullah Mulondo era agambye nti 13, Janwali, 2018, Paul Rodgers ng’asinzira mu maka ge ku kyalo Bwebajja, Kajjansi mu Disitulikiti y’e Wakiso, yatulugunya mukyala we Lillian Kaitesi n’okutisatiisa okumutta, ekitakirizibwa.
Omuzungu Paul Rodgers emisango gyona agyegaanye.