MUWEDDE! Gen Kayihura akambuwadde, alabudde okugoba abaserikale ab’olugambo

©GALAXY

Omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura afulumiza ekiragiro ekikambwe ekikugira omusirikale yenna mu kitongole kya Poliisi okuwa amawulire eri ebitongole byokwerinda ebirala mu ggwanga nga ye (Kayihura) tamanyi. Okusinzira ku kiwandiiko ekirabiddwako 100.2 Galaxy FM nga kiriko omukono gwa Gen. Kayihura nga 21, Febwali, 2018, okumala gafulumya amawulire ga Poliisi, kinafuya ekitongole kya […]


Omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura afulumiza ekiragiro ekikambwe ekikugira omusirikale yenna mu kitongole kya Poliisi okuwa amawulire eri ebitongole byokwerinda ebirala mu ggwanga nga ye (Kayihura) tamanyi.
Okusinzira ku kiwandiiko ekirabiddwako 100.2 Galaxy FM nga kiriko omukono gwa Gen. Kayihura nga 21, Febwali, 2018, okumala gafulumya amawulire ga Poliisi, kinafuya ekitongole kya Poliisi n’omukulembeze wakyo.
Mungeri y’emu Kayihura agamba nti buli musirikale yenna alina okufuna olukusa okusobola okuwa ekitongole ekirala kyona amawulire.
Gen Kale Kayihura agamba nti buli musirikale yenna alina okukuuma ebyama okutukiriza amateeka ga Poliisi.