AUDIO! Okubojjerera abayizi ku yunivasite, Omussomesa abikudde ekyama lwaki bagwa mu waaya zabwe

©GALAXY

Bya Philomena Katonde Omuzze gw’abaana okwagala abassomesa ku matendekero agawagulu n’abassomesa okuganza abayizi, kweyongedde ku matendekero nga kivudde ku nsonga ezenjawulo. Okusinzira ku omussomesa omutendeka ku Yunivasite y’e Makerere, Wangota Masakala Micheal, abaana bangi nnyo naddala ab’obuwala, abataagala kussoma kyoka ne basuubira okweyambisa omubiri gwabwe okufuna kye baagala ng’abayita mu kusikiriza abassomesa okuggwa mukwano nabob […]


Bya Philomena Katonde

Omuzze gw’abaana okwagala abassomesa ku matendekero agawagulu n’abassomesa okuganza abayizi, kweyongedde ku matendekero nga kivudde ku nsonga ezenjawulo.
Okusinzira ku omussomesa omutendeka ku Yunivasite y’e Makerere, Wangota Masakala Micheal, abaana bangi nnyo naddala ab’obuwala, abataagala kussoma kyoka ne basuubira okweyambisa omubiri gwabwe okufuna kye baagala ng’abayita mu kusikiriza abassomesa okuggwa mukwano nabob ate basukiridde okwambala obugoye bukokoonyo buyite ‘ssonsomola’.

Mungeri y’emu agambye nti n’abassomesa, nabbo balina omusaayi era bakemebwa, ekiwadde omukisa abayizi bangi ku yunivasite, okunafuya emitima gy’abassomesa.
Wangota era agambye nti, waliwo n’abassomesa abamu abasuula abaana nga bakigenderedde n’ekigendererwa okubasaba omukwano, basobole okuyita ebigezo nga bafuna Makisi ez’obwereere.