AUDIO! Yiino emboozi enkambwe ng’omutemu alemeddeko okutta Susan Magara, maama ng’ali maziga yegayirira

©GALAXY

Oluvanyuma lwa Susan Magara okuwambibwa kyoka nattibwa era omulambo gwe gwazuliddwa olunnaku olw’eggulo nga gusuliddwa e Kigo ku luguudo lwe Ntebbe nate obujjulizi bwongedde okuvaayo. Embeera eyo, yawaliriza Poliisi okuvaayo okuteekawo obukadde 100 obwa Uganda eri omuntu yenna ayinza okuwa Poliisi amawulire ku muntu eyenyigidde mu kutta Susan Magara. Okusinzira katambi, 100.2 Galaxy FM kefunye, […]


Oluvanyuma lwa Susan Magara okuwambibwa kyoka nattibwa era omulambo gwe gwazuliddwa olunnaku olw’eggulo nga gusuliddwa e Kigo ku luguudo lwe Ntebbe nate obujjulizi bwongedde okuvaayo.
Embeera eyo, yawaliriza Poliisi okuvaayo okuteekawo obukadde 100 obwa Uganda eri omuntu yenna ayinza okuwa Poliisi amawulire ku muntu eyenyigidde mu kutta Susan Magara.
Okusinzira katambi, 100.2 Galaxy FM kefunye, kalaga nti omutemu yali asabye abazadde b’omugenzi akakadde kamu aka Doola okusobola okuyimbula omwana wabwe wabula ekyembi omukyala Magara yatiddwa.
Susan Magara myaka 28 yabuzibwawo nga 7, Febwali, 2018 bwe yali akyuse ku mirimu okudda awaka e Lungujja mu Gombolola y’e Rubaga okumpi n’amaka we yali abeera era yali akola ne kitaawe John Magara.
https://www.youtube.com/watch?v=jsqlfWxCCVU