Poliisi ezudde omulambo nga guteekeddwa ku mmotooka ku mwalo e Kasenyi e Ntebbe enkya ya leero, kitabudde abatuuze. Omulambo gubadde ku mmotooka ekika kya Dayana namba UAW 994W, nga guzingiddwa mu kiveera ekya Bulaaka nga gubikiddwako ensawo za mukene, okubuzabuza abantu. Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigire agambye nti omulambo okuva e […]
Poliisi ezudde omulambo nga guteekeddwa ku mmotooka ku mwalo e Kasenyi e Ntebbe enkya ya leero, kitabudde abatuuze.
Omulambo gubadde ku mmotooka ekika kya Dayana namba UAW 994W, nga guzingiddwa mu kiveera ekya Bulaaka nga gubikiddwako ensawo za mukene, okubuzabuza abantu.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigire agambye nti omulambo okuva e Kalangala Poliisi ebadde ekimanyiko kyoka ekyembi kyabakoze, kwekweyambisa mmotooka y’emu abadde etiise mukene n’okutekebwa mu kiveera.
