Poliisi e Jinja ekutte omuvubuka myaka 21 lwa kusobya ku mwana myaka 5. Emmanuel Bazibu omutuuze w’e Kiko Zone mu gombolola y’e Kakira yakwatiddwa ku bigambibwa nti yasooberedde omwana wa muganda we abadde abeera ne jjajja we, namusobyako nga jjajja taliwo ali ku mulimu. Aduumira Poliisi y’e Kiira East David Wamunyerere agambye nti omukwate ali […]
Poliisi e Jinja ekutte omuvubuka myaka 21 lwa kusobya ku mwana myaka 5.
Emmanuel Bazibu omutuuze w’e Kiko Zone mu gombolola y’e Kakira yakwatiddwa ku bigambibwa nti yasooberedde omwana wa muganda we abadde abeera ne jjajja we, namusobyako nga jjajja taliwo ali ku mulimu.
Aduumira Poliisi y’e Kiira East David Wamunyerere agambye nti omukwate ali mu kaduukulu ka Poliisi e Kakira era essaawa yonna bamutwala ku kitebe kya Poliisi e Jinja.
