Emu ku Bbanka esinga omutindo mu Uganda eya Uganda Development Bank (UDB) eyongedde okutumbula enkolagana abuntu ng’eyita mu kubakulakulanya. Bbanka eno nga yegatiddwako Resilient African Network, basobodde okuwa abawanguzi 3 obukadde bw’ensimbi kwabo 25 abasobole okuvuganya mu Kampeyini gye batekawo okudukirira abantu, okulakulanya emirimu gyabwe eya UDB Growth Accelerator Program. Akawungeenzi k’olunnaku olw’eggulo ku mukolo […]
Emu ku Bbanka esinga omutindo mu Uganda eya Uganda Development Bank (UDB) eyongedde okutumbula enkolagana abuntu ng’eyita mu kubakulakulanya.
Bbanka eno nga yegatiddwako Resilient African Network, basobodde okuwa abawanguzi 3 obukadde bw’ensimbi kwabo 25 abasobole okuvuganya mu Kampeyini gye batekawo okudukirira abantu, okulakulanya emirimu gyabwe eya UDB Growth Accelerator Program.
Akawungeenzi k’olunnaku olw’eggulo ku mukolo ogwabadde ku Hotel Africa, aba Guide Leisure Farm bawangudde Kampeyini eyo, olw’okuyiiya okweyambisa ebintu ebyenjawulo omuli Omusulo, Obutungulu, Kaamulali, okufuna eddagala elifuyira ebirime era bafunye obukadde 25.

Banno nga bakulembeddwamu Gudula Naiga Basaza, agambye nti bagenda kweyambisa obukadde 25shs okufuna layisinsi n’okutumbula omutindo gwe ddagala lyabwe sako n’okunoonya akatale mu bannayuganda bonna.
Ate aba Hybrid Silage and hay Machine bakutte kyakubiri. Banno balina ekyuma omulunzi kyasobola okweyambisa okukuuma omuddo n’okusingira ddala mu biseera bye kyeeya era bafunye obukadde 15shs.
abakutte eky’okubiri nga bakulembeddwamu Brain Atuhaire akulembeddemu banne agambye nti bagenda kweyambisa ensimbi ezo, okunoonya akatale eri abalunzi.
Mungeri y’emu aba Solar Irrigation bakutte kyakusatu era bafunye obukadde 5shs. Banno bavubuka okuva ku yunivasite y’e Makerere era basobodde okuyiiya ekyuma ekikozesa amaanyi g’enjuba okufuyira ebirime.

Sam Musisi akulembera ekibiina kyabwe agambye nti balina esuubi okweyambisa tekinologye wabwe okukyusa embeera.
