AMAZIGA! Maama akutte ekiso, atemyeko omwana we omutwe

©GALAXY

Poliisi mu disitulikiti y’e Mubende ekutte omukyala lwa kutemako mwana we omutwe. Ettemu lino lyabadde ku kyalo Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna. Harriet Nabukera, 30 omutuuze ku kyalo Buronzi mu Town council y’e Kasambya yakwatiddwa. Poliisi egamba nti Nabukera yeyambisiza ekiso okutta omwana we era kigambibwa nti baludde nga balina obutakanya […]


Poliisi mu disitulikiti y’e Mubende ekutte omukyala lwa kutemako mwana we omutwe.

Ettemu lino lyabadde ku kyalo Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna.

Harriet Nabukera, 30 omutuuze ku kyalo Buronzi mu Town council y’e Kasambya yakwatiddwa.

Poliisi egamba nti Nabukera yeyambisiza ekiso okutta omwana we era kigambibwa nti baludde nga balina obutakanya ne muwala we.

Nobert Ochom omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Wamala agambye nti omukyala Nabukera ali ku Poliisi yabwe Kasambya ate omulambo gw’omwana gutwaliddwa mu ddwaliro lya Kasambya Health Centre IV okwekebejjebwa.