TULINA WORK! Okukuza olunnaku lw’abakyala, abasirikale balaze eswaga

©GALAXY

Nga eggwanga Uganda lyetegekera okukuza olunaku lw’abakyala nga 8, March, 2018 e Mityana, abali mu ekitongole kya poliisi batongoza wiiki yaabwe gyebatuumye “Police Women’s week”. Kino kikoleddwa okulaga eggwanga lyona nti abakyala nga ogyeeko okubeera ba maama basobola n’okwenyigira mu mirimu emirala egikulaakulanya eggwanga Uganda. Aba poliisi abakyala wiiki yabwe bagitongolezza ku bitaala ebiri kunkulungo […]


Nga eggwanga Uganda lyetegekera okukuza olunaku lw’abakyala nga 8, March, 2018 e Mityana, abali mu ekitongole kya poliisi batongoza wiiki yaabwe gyebatuumye “Police Women’s week”. Kino kikoleddwa okulaga eggwanga lyona nti abakyala nga ogyeeko okubeera ba maama basobola n’okwenyigira mu mirimu emirala egikulaakulanya eggwanga Uganda.

Aba poliisi abakyala wiiki yabwe bagitongolezza ku bitaala ebiri kunkulungo ya Jinja road mu Kampala era nga beebabaddewo okulungamya entambula y’ebidduka mu kitundu ekyo.

Ku nsonga eyo, Claire Ansasire omusirikale mu Poliisi y’ebidduuka agambye nti abakyala basobola okukola emirimu mingi nnyo omuli okuzaala, okutambuza amaka, okulima n’omulimu gwona oguyinza okukolebwa omusajja.