Bya Zainab Ali ne Kyeyune Steven Mirembe Bannakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), basekeredde Bannayuganda abalowooza nti enkyukakyuka ezakoleddwa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu bitongole ebikuuma ddembe, zigenda kuyambira ddala okutangira ekitta bantu mu ggwanga lino. Ba FDC mukwogera kwabwe eri bannamawulire ku kitebe e Najjanankumbi, bagambye nti wadde Okoth Ochola yalondeddwa […]
Bya Zainab Ali ne Kyeyune Steven Mirembe
Bannakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), basekeredde Bannayuganda abalowooza nti enkyukakyuka ezakoleddwa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu bitongole ebikuuma ddembe, zigenda kuyambira ddala okutangira ekitta bantu mu ggwanga lino.
Ba FDC mukwogera kwabwe eri bannamawulire ku kitebe e Najjanankumbi, bagambye nti wadde Okoth Ochola yalondeddwa okuduumira poliisi mu ggwanga okudda mu bigere bya Gen Kale Kayihura ne Gen. Elly Tumwine okusikira Lt Gen Henry Tumukunde nga Minisita w’obutebenkevu, tewali kigenda kukyuka.
Amyuka Pulezidenti w’ekibiina Salaam Musumba, agambye nti wadde Ochola yalondeddwa okulembera Poliisi, agenda kuzinira ku ntoli z’omumyuka we Brig. Muzeei Sabitti kuba munnamaggye era yalina obuyinza, Ochola aliwo nga kifaananyi.

Mungeri y’emu agambye nti wadde enkyukakyuka zakoleddwa tewali kigenda kukyuka mu ntambuza y’emirimu nga n’ebikolwa ebikyamu omuli abantu okutibwa n’okusingira ddala abakyala bigenda kweyongera.
