Kyaddaki Gavumenti evuddeyo ku nsonga za Gen Kale Kayihura eyagobeddwa olunnaku olw’eggulo ku ky’okuduumira Poliisi mu ggwanga lino. Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter okulangirira enkyukakyuka era Okoth Ochola yazze mu bigere bya Gen Kayihura okuduumira Poliisi. Wabula omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo, bw’abadde ku NBS TV enkya ya leero, agambye nti […]
Kyaddaki Gavumenti evuddeyo ku nsonga za Gen Kale Kayihura eyagobeddwa olunnaku olw’eggulo ku ky’okuduumira Poliisi mu ggwanga lino.
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter okulangirira enkyukakyuka era Okoth Ochola yazze mu bigere bya Gen Kayihura okuduumira Poliisi.

Wabula omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo, bw’abadde ku NBS TV enkya ya leero, agambye nti Gen Kayihura akyali w’amaggye ga UPDF era musirikale omutendeke ng’omukulembeze w’eggwanga lino, asobola okumusindika okuwereza mu maggye. Ofwono said: “He is going to the administration of the UPDF. He is a serving army officer.”
Mungeri y’emu agambye nti Gen Kayihura asobodde okulongosa ekitongole kya Poliisi kyoka obutakanya wakati we n’abadde minisita w’obutebenkevu Lt Gen Henry Tumukunde y’emu ku nsonga lwaki ku ssaawa envanyuma balemeddwa okutambuza emirimu gyabwe.
Gen Elly Tumwine yalondeddwa okudda mu bigere bya Lt Gen Tumukunde nga minisita w’obutebenkevu.
Bya Kyeyune Steven Mirembe
