ANTI ROLEX! Kirumira awangudde Gavumenti, asigaza emisango 3

©GALAXY

Eyali aduumira poliisi y’e Buyende, ASP Muhammad Kirumira awangudde rawundi esooka mu kkooti ya Poliisi era essaawa yonna asemberedde okuwangula emisango gyona egimuvunanibwa. Kirumira sabiti ewedde, crime preventer, Ibrahim Bukenya yamulumiriza nti yabba Chapati y’amaggi gy’oyinza okuyita “Rolex” mu 2013, Kirumira ng’akyakulira Poliisi y’e Nansana. Wabula enkya ya leero, Bukenya talabiseeko mu kkooti ya Poliisi […]


Eyali aduumira poliisi y’e Buyende, ASP Muhammad Kirumira awangudde rawundi esooka mu kkooti ya Poliisi era essaawa yonna asemberedde okuwangula emisango gyona egimuvunanibwa.

Kirumira sabiti ewedde, crime preventer, Ibrahim Bukenya yamulumiriza nti yabba Chapati y’amaggi gy’oyinza okuyita “Rolex” mu 2013, Kirumira ng’akyakulira Poliisi y’e Nansana.

Wabula enkya ya leero, Bukenya talabiseeko mu kkooti ya Poliisi okuddamu okulumiriza Kirumira ku musango gwo.

Embeera eyo, ewaliriza omuwaabi wa Gavumenti, Catherine Kusemererwa okusaba kkooti abadde ekulembeddwamu Denis Odongopiny, omusango gwo okusulibwa mu kasero kuba tewali bujjulizi.

Kirumira mu kiseera kino asigaza emisango 3 omuli okusiwuuka empisa ng’ali mu kkooti ya Poliisi, obuli bw’enguzi n’okweyambisa obubbi ofiisi.