AUDIO! Omusawo abadde asasaanya sirimu ku mitwalo 5 akwatiddwa, Poliisi eyogedde

©GALAXY

Poliisi y’e Kiganda e Kasokoso mu Disitulikiti y’e Wakiso ekutte omusawo abadde asukiridde okukyangakyanga, ebivudde musawo eri abatuuze mu kitundu ekyo. Omusawo Moses Mande yakwatiddwa era emirimu gye, agitambuliza ku Citizen Medical Centre e Kiganda mu Kasokoso ng’abantu abalina sirimu, babadde basukiridde okumweyambisa, okukyusa ebivudde musaayi ne bafuna ebiwandiiko ebiraga nti balamu bulungi nnyo era […]


Poliisi y’e Kiganda e Kasokoso mu Disitulikiti y’e Wakiso ekutte omusawo abadde asukiridde okukyangakyanga, ebivudde musawo eri abatuuze mu kitundu ekyo.

Omusawo Moses Mande yakwatiddwa era emirimu gye, agitambuliza ku Citizen Medical Centre e Kiganda mu Kasokoso ng’abantu abalina sirimu, babadde basukiridde okumweyambisa, okukyusa ebivudde musaayi ne bafuna ebiwandiiko ebiraga nti balamu bulungi nnyo era buli muntu ayagala okufuna ekiwandiiko ebikyamu, agibwako emitwalo 5 eza Uganda.

Ono okwatibwa, kidiridde omusajja atagadde kwatukiriza mannya ge, omuwaayo emitwalo 5 okufuna ekiwandiiko ekiraga nti mulamu nnyo ate ng’ali ku ddagala emyaka 3 egyakayita.

Luke Oweyesigyire
Luke Oweyesigyire

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigyire agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza era essaawa yonna Mande atwalibwa mu kkooti amangu ddala nga bafunye obujjulizi obulaga nti abadde akyusa ebivudde mu musaayi.