Kyaddaki Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni agambye nti abantu babadde batandiise obutesiga kitongole kya Poliisi kuba kibadde kijjuddemu kawukuumi. Pulezidenti Museveni bw’abadde eyogerako eri abantu ku lunnaku lw’abakyala mu Disitulikiti y’e Mityana, agambye nti bannayuganda bangi babadde bagamba nti Poliisi eremeddwa okukwata abatemu abatta abantu mu ggwanga lino kyoka bangi bakwatiddwa wabula Poliisi ebadde […]
Kyaddaki Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni agambye nti abantu babadde batandiise obutesiga kitongole kya Poliisi kuba kibadde kijjuddemu kawukuumi.
Pulezidenti Museveni bw’abadde eyogerako eri abantu ku lunnaku lw’abakyala mu Disitulikiti y’e Mityana, agambye nti bannayuganda bangi babadde bagamba nti Poliisi eremeddwa okukwata abatemu abatta abantu mu ggwanga lino kyoka bangi bakwatiddwa wabula Poliisi ebadde ejjudemu kawukuumi nga y’emu ku nsonga lwaki bangi ku bakwatiddwa bannayuganda tebayinza kubamanya.
Mungeri y’emu avumiridde ekitongole ky’amakkomera okugyako abasibe empingu nga batwaliddwa mu kkooti n’okusingira ddala abakwatiddwa ku misango gya nagomola omuli ettemu kuba y’emu ku nsonga lwaki abasibe babiri kwabo abali bakwatiddwa mu kitta bantu ekyali e Masaka batoloka okuva mu kkooti y’e Masaka sabiti ewedde gye bali batwaliddwa okuwuliriza emisango gyabwe.
Pulezidenti Museveni agamba nti abasirikale mu kitongole ky’amakkomera bali basumagira nga bali mu kkooti ekyavirako abasibe okutoloka.
Omukolo gwetabiddwako abantu bangi ddala omuli amyuka Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi, sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga, Minisita w’obutebenkevu General Elly Tumwine, ababaka ba palamenti, baminisita n’abantu abalala era abantu bangi nnyo bawereddwa emidaali.
