Poliisi mu Disitulikiti y’e Kakumiro ekutte ssemaka myaka 45 lwa kutta mukyala we lwa shs 5000. Omukwate, mutuuze ku kyalo Kikoora mu Gombolola y’e Kakinso nga yakwatiddwa abatuuze b’e Nalweyo era mu Disitulikiti y’e Kakumiro gy’abadde yekwese. Kigambibwa, ssemaka yakutte ekiso natta mukyala we Norida Komwaka myaka 32, mu kiro ky’olunnaku olwa Mmande, oluvanyuma lw’okumuteemateema […]
Poliisi mu Disitulikiti y’e Kakumiro ekutte ssemaka myaka 45 lwa kutta mukyala we lwa shs 5000.
Omukwate, mutuuze ku kyalo Kikoora mu Gombolola y’e Kakinso nga yakwatiddwa abatuuze b’e Nalweyo era mu Disitulikiti y’e Kakumiro gy’abadde yekwese.
Kigambibwa, ssemaka yakutte ekiso natta mukyala we Norida Komwaka myaka 32, mu kiro ky’olunnaku olwa Mmande, oluvanyuma lw’okumuteemateema yenna.
Obutakanya, ssemaka yali abanja mukyala we shs 5000, tazirina mu kiseera ekyo namutta.
Akulira Poliisi y’e Kikoora, Ismail Friday agambye nti ssemaka yakiriza okutta mukyala we era essaawa yonna, bamutwala mu kkooti amangu ddala nga bakomekereza okunoonyereza.
