OKUTTA MAGARA! Poliisi ekutte 3, omugagga mu Kampala akwatiddwa nawoloma

©GALAXY

Poliisi eyongedde okunoonyereza okwata abantu bonna abalina akakwate ku ttemu eryakolebwa ku mukyala Susan Magara myaka 28, eyawambibwa, oluvanyuma nattibwa mu bukambwe era omulambo gwe, gwasuulibwa ebbali w’ekkubo wakati wa Kajjansi ne Kigo ku luggudo lwe Ntebbe nga gusaliddwako engalo 2. Webukeredde enkya ya leero ng’abantu 3 bebakakwatibwa omuli Bob Kibirango, Patrick Agaba ne Ronald […]


Poliisi eyongedde okunoonyereza okwata abantu bonna abalina akakwate ku ttemu eryakolebwa ku mukyala Susan Magara myaka 28, eyawambibwa, oluvanyuma nattibwa mu bukambwe era omulambo gwe, gwasuulibwa ebbali w’ekkubo wakati wa Kajjansi ne Kigo ku luggudo lwe Ntebbe nga gusaliddwako engalo 2.

Webukeredde enkya ya leero ng’abantu 3 bebakakwatibwa omuli Bob Kibirango, Patrick Agaba ne Ronald Asiimwe amanyikiddwa nga Kanyankola, eyakwatibwa ku wikendi.

Patrick Agaba mutuuze w’e Munyonyo mu Kampala era musajja mugagga, emmotoka zavugga, ziriko amannya aga PATO era yakwatiddwa mu ggwanga erya South Africa.

Ebyo ebitongole ebikuuma ddembe ebyenjawulo okuli ekitongole kya ‘Flying Squad’ ekirwanyisa abazigu b’emmundu, CMI n’ebirala bikyagenda mu maaso n’omuyigo, okuzuula abali mu ttemu eryo bonna bakwatibwe.