Poliisi mu Disitulikiti y’e Rubanda etandiise okunoonyereza ekyavuddeko omusibe okwetugira mu kaduukulu kabwe, olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, omusibe Gerald Wednesday abadde mutuuze we Nyarurambi mu gombolola y’e Muko, yabadde akwatiddwa ku by’okubba ssente n’ebintu kyoka olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna ku makya, yasangiddwa ng’afiiridde mu […]
Poliisi mu Disitulikiti y’e Rubanda etandiise okunoonyereza ekyavuddeko omusibe okwetugira mu kaduukulu kabwe, olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, omusibe Gerald Wednesday abadde mutuuze we Nyarurambi mu gombolola y’e Muko, yabadde akwatiddwa ku by’okubba ssente n’ebintu kyoka olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna ku makya, yasangiddwa ng’afiiridde mu kaduukulu, nga yeetuze.
Maate agamba nti okwetta, yasobodde okweyambisa bulanketi gye yabadde yebaseko kyoka abadde yakamala okutegeeza Poliisi nti yabye ne munne Godfrey Owomugabe.
Abasirikale amangu ddala nga bamaze okukwata Owomugabe, bageenze okugulawo akaduukulu olunnaku olw’eggulo ku makya nga Wednesday alengejja.
Gerald Wednesday kati omugenzi, yakwatiddwa abakulembeze ku kyalo ku by’okumenya edduuka ly’omutuuze munabwe Alex Turyamureba nga bayita mu Dinisa ne batalwa obukadde 4 obwa Uganda n’ebintu ebirala.
Wabula Maate agambye nti Poliisi, etandiise okunoonyereza ekyaviriddeko omusibe okwetta.
