Teri kuddamu kutunda wadde kutembeeya ssimu, Airtime ku nguddo – UCC

©GALAXY

Bya Nalule Aminah Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya ekya Uganda Communication Commission (UCC), kifulumiza amateeka amakambwe eri abantu bonna abatunda eby’empuliziganya omuli layini z’amassimu sako nabbo abatunda Airtime mu ggwanga lino. Okusinzira ku ssenkulu w’ekitongole ekyo, Godfrey Mutabazi, okuva olunnaku olwaleero tewali muntu yenna akirizibwa kutembeeya Airtime ku makkubo wadde layini z’amassimu. Mutabazi agamba nti buli […]


Bya Nalule Aminah

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya ekya Uganda Communication Commission (UCC), kifulumiza amateeka amakambwe eri abantu bonna abatunda eby’empuliziganya omuli layini z’amassimu sako nabbo abatunda Airtime mu ggwanga lino.

Okusinzira ku ssenkulu w’ekitongole ekyo, Godfrey Mutabazi, okuva olunnaku olwaleero tewali muntu yenna akirizibwa kutembeeya Airtime ku makkubo wadde layini z’amassimu.

Mutabazi agamba nti buli muntu yenna, agenda okutunda Airtime oba layini z’essimu, atekeddwa okuwandisibwa mu kitongole kyabwe ekya UCC nafuna ekiwandiiko ekimukiriza okutambuza emirimu gye.

Agamba buli muntu yenna ayagala okutunda Airtime atekeddwa okuba n’ekifo ekimanyiddwa nga bwe guli ku batunda eddagala.

Mungeri y’emu ajjukiza bananyini mikutu gy’amassimu okusalako amasimu agatali mawandiise.

Mutabazi bw’abadde eyogerako eri bannamawulire ku kitebe kya UCC e Bugolobi, ekyo kikoleddwa okulwanyisa abantu abakyamu abatandiise okweyambisa amassimu, okwenyigira mu kumenya amateeka.