Kyaddaki abadde omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga Edward Kalekezi Kayihura Muhwezi alangiridde omulimu omulala gw’agenda okukola okusobola okuwereza eggwanga lye. Gen Kayihura bwe yabadde awaayo offisi eri Martin Okoth Ochola eyalondeddwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuduumira Poliisi mu ggwanga lino ku kitebe kya Poliisi e Naguru, yagambye nti agenda kutandiika kuba “Crime Preventer” okuyambako Poliisi […]
Kyaddaki abadde omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga Edward Kalekezi Kayihura Muhwezi alangiridde omulimu omulala gw’agenda okukola okusobola okuwereza eggwanga lye.
Gen Kayihura bwe yabadde awaayo offisi eri Martin Okoth Ochola eyalondeddwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuduumira Poliisi mu ggwanga lino ku kitebe kya Poliisi e Naguru, yagambye nti agenda kutandiika kuba “Crime Preventer” okuyambako Poliisi okutangira emisango.
Gen Kayihura agamba nti okutebekenza ebyokwerinda, buli muntu yenna alina okwenyigiramu okuyamba ku Poliisi era y’emu ku nsonga lwaki agenda kuba Crime Preventer obulamu bwe bwona.
