MUTUYAMBE! Abasawo basobeddwa, emirambo gibalemeddeko, gitandiise okuvunda

©GALAXY

Eddwaliro e Kkulu e Kabale, likyatubidde n’emirambo 3 mu ggwanika era mu kiseera kino abasawo basobeddwa eka ne mu kibira. Okusinzira ku bakulira eddwaliro, ku mirambo 3, omu ategerekese nga Allan Agaba myaka 20 yatibwa nga 28, Febwali, 2018 mu disitulikiti y’e Rukungiri, omulambo gwe ne gusulibwa mu nsiko ku luguudo lwe Muhanga-Kisiizi. Emirambo 2 […]


Eddwaliro e Kkulu e Kabale, likyatubidde n’emirambo 3 mu ggwanika era mu kiseera kino abasawo basobeddwa eka ne mu kibira.

Okusinzira ku bakulira eddwaliro, ku mirambo 3, omu ategerekese nga Allan Agaba myaka 20 yatibwa nga 28, Febwali, 2018 mu disitulikiti y’e Rukungiri, omulambo gwe ne gusulibwa mu nsiko ku luguudo lwe Muhanga-Kisiizi.

Emirambo 2 tegimanyiddwa mannya okuli n’omwana omuto eyatomerwa emmotoka nafirawo ku luguudo lwe Kabale-Katuna mu sabiti ng’emu eyakayita.

Akulira eddwaliro, Suzan Mulongo bw’abadde eyogerako naffe agambye nti emirambo gitandiise okuvunda, okuwunya era essaawa yonna bagenda kugiziika.