Bannakibiina kya FDC basuze mu bikujjuko mu bitundu bya Jinja East oluvanyuma lwa kakiiko k’ebyokulonda okulangirira munnakibiina kyabwe Paul Mwiru nti awangudde eky’omubaka wa Palamenti mu kalulu akakubiddwa mu namutikwa w’enkuba olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna. Okusinzira ku birangiriddwa atwala ebyokulonda mu disititulikiti y’e Jinja nga zikunukiriza okuwera ssaawa 4 mu kiro ekikeseza olwa leero, Rogers […]
Bannakibiina kya FDC basuze mu bikujjuko mu bitundu bya Jinja East oluvanyuma lwa kakiiko k’ebyokulonda okulangirira munnakibiina kyabwe Paul Mwiru nti awangudde eky’omubaka wa Palamenti mu kalulu akakubiddwa mu namutikwa w’enkuba olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna.
Okusinzira ku birangiriddwa atwala ebyokulonda mu disititulikiti y’e Jinja nga zikunukiriza okuwera ssaawa 4 mu kiro ekikeseza olwa leero, Rogers Sserunjogi, Mwiru awangudde abantu 7 ng’afunye obululu 6,654.

Munna NRM Nathan Igeme Nabeta akutte kyakubiri ng’afunye obululu 5,043.
Ate abalala 6 abesimbyewo nga nampa wengwa okuli Faisal Mayemba Masaba 117, Paul Mugaya 48, Richard Henry Nyanzi 47, Francis Wakabi 24, Monica Abuze 18 ate Hatimu Isabirye Mugendi yasembye n’obululu 7.
Ku balonzi abasuuka 2,8000 ababadde basubirwa okulonda 11,958 bebalonze mu bifo ebirondebwamu 47 ate obululu 176 bufudde.
Amangu ddala nga Mwiru alangiriddwa agambye nti abantu ba Jinja East bogedde era balonze omuntu agenda okutwala ensonga zabwe mu Palamenti.
Mungeri y’emu agambye nti abantu okulonda owa FDC kabonero akalaga nti bakyali banyivu nnyo olwa NRM okukola enkyukakyuka mu sseemateeka w’eggwanga lino okugyamu ekkomo ku myaka gy’omuntu yenna ayagala obukulembeze w’eggwanga lino n’ababaka okweyongeza emyaka 2 egy’ekisanja okuva kwe 5 okudda ku 7.
