Leero lwe guweze omwaka mulamba bukya AIGP Kaweesi attibwa, abatuuze b’e Lwengo bogedde ebikankana

©GALAXY

Olunnaku olwaleero nga 17, March, 2018, lwe guweze omwaka mulamba bukya eyali AIGP Andrew Felix Kaweesi atuva ku maaso. AIGP yattibwa nga 17, March, 2017 e Kulambiro okumpi n’amakaage nga yakubwa amasasi era mu mmotoka yalimu ne ddereeva we Godfrey Mambewo n’omukuumi we Kenneth Erau era bonna bafirawo. Bukya Kaweesi attibwa, Poliisi yakwata abantu bangi […]


Olunnaku olwaleero nga 17, March, 2018, lwe guweze omwaka mulamba bukya eyali AIGP Andrew Felix Kaweesi atuva ku maaso.

AIGP yattibwa nga 17, March, 2017 e Kulambiro okumpi n’amakaage nga yakubwa amasasi era mu mmotoka yalimu ne ddereeva we Godfrey Mambewo n’omukuumi we Kenneth Erau era bonna bafirawo.

AIGP Kaweesi bwe yali ayogerako eri bannamawulire e Kasese
AIGP Kaweesi bwe yali ayogerako eri bannamawulire e Kasese

Bukya Kaweesi attibwa, Poliisi yakwata abantu bangi ddala kyoka abamu bayimbulwa dda kakalu ka kkooti era abasuuka 8 basindikibwa dda mu kkooti enkulu okutandiika okwewozaako kyoka tewali muntu yenna yali asingisiddwa musango olw’abantu abbo okutibwa.

Abamu ku bali mu kkooti enkulu abalindiridde okwewozaako kuliko Abdul Rashid Mbaziira, Araman Higenyi, Yusuf Mugerwa, Bruhan Balyejusa, Joshua Kyambadde, Jibril Kalyango, Yusuf Nyanzi, Shafik Kasujja n’abalala.

Bangi ku bannayuganda n’okusingira ddala abatuuze b’e Lwengo bagamba nti Poliisi tekoze kimala okubonereza abantu bonna abalina akakwate ku nfa y’omuntu wabwe Kaweesi.

Abatuuze b'e Lwengo
Abatuuze b’e Lwengo

Kinnajjukirwa n’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni we yali ku bikujjuko by’olunnaku lw’abakyala mu Disitulikiti y’e Mityana nga 8, March, 2018 yategeeza nti abamu ku benyigira mu kutta Kaweesi bakwatibwa kyoka abalala tebakwatibwanga.

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni

 

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga lino Emilian Kayima agamba nti Poliisi esobodde okukola omulimu gwaayo kuba abamu ku bagambibwa nti balina akakwate ku nfa ya Kaweesi bakwatibwa era bali mu kkooti.

Omwogezi wa Poliisi Emilian Kayima
Omwogezi wa Poliisi Emilian Kayima

Omugenzi Kaweesi weyafira yali mwogezi wa Poliisi mu ggwanga lino, yayingira poliisi mu 2001 mu kiseera nga Gen. Katumba Wamala ye muduumuzi wa poliisi mu ggwanga.

Yazaalibwa nga 28, January, 1974, natibwa 17, March, 2017 ku myaka 43, yali musajja mufumbo alina omukyala n’abaana 3 kyoka omukyala yamuleka n’olubuto.


Namwandu wa Kaweesi n’abaana

Mu bulamu bwe mu kitongole kya Poliisi, yakulirako ettendekero lya poliisi e Kabalye Masindi mu 2007 era ye yalambuza Nnaabakyala wa Bungereza paleedi ya poliisi ku Serena olukuηηaana lwa CHOGM bwe lwatuula mu ggwanga, mu 2012 Gen. Kale Kayihura yamulonda okubeera omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano mu kiseera Dr. Kizza Besigye n’ab’oludda oluvuganya we beekalakaasiza ennyo mu “Walk To Work” era n’abassaako eryanyi eryamalawo okwekalakaasa okwo n’okuwa abantu mu kibuga Kampala emirembe okuddamu okutambuza emirimu gyabwe, mu 2014 Kaweesi yaggyibwa ku kya Kampala n’azzibwa ku ky’okukulira ebikwekweto mu poliisi mu ggwanga lyona. Ajjukirwa nnyo mu 2015 bwe yakwata eyaliko ssaabaminisita wa Uganda Amama Mbabazi e Jinja ng’amulemesa okutuuka e Mbale gye yalina olukuηηaana mu kiseera ng’ayagala okwetekateeka okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu 2016.

AIGP Kaweesi oluvannyuma yasindikibwa okukulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutendeka n’okubangula abapoliisi era mu August wa 2016 n’alondebwa okubeera omwogezi wa poliisi mu ggwanga.

AIGP Kaweesi yazikibwa mu Disitulikiti y’e Lwengo