Eyaliko omubaka we Bubulo West mu Palamenti Tonny Kipoi Nsubuga n’abasirikale ba UPDF bataano (5) enkya ya leero mu kkooti y’amaggye e Makindye baguddwako okwagala okuvunika Gavumenti ya Yoweri Kaguta Museveni. Kipoi mu Febwali wa 2018, yakwatibwa mu ggwanga erya Botswana nga yefudde omusawo w’ekinnansi ne bamugoba mu ggwanga eryo. Mu kkooti y’amaggye e Makindye […]
Eyaliko omubaka we Bubulo West mu Palamenti Tonny Kipoi Nsubuga n’abasirikale ba UPDF bataano (5) enkya ya leero mu kkooti y’amaggye e Makindye baguddwako okwagala okuvunika Gavumenti ya Yoweri Kaguta Museveni.
Kipoi mu Febwali wa 2018, yakwatibwa mu ggwanga erya Botswana nga yefudde omusawo w’ekinnansi ne bamugoba mu ggwanga eryo.
Mu kkooti y’amaggye e Makindye enkya ya leero mu maaso ga ssentebbe Lt. Gen. Andrew Gutti, Kipoi n’abasirikale okuli Sgt.Yunus Lemeriga, Cpl Rogers Mweru, Sgt Adams Mawa, Sgt Albino Okeng ne Pte Dodola Ijosiga okuva e Masaka baguddwaako emisango egikwata ku byokwerinda.

Oludda oluwaabi, lugamba nti abavunanibwa wakati wa November 2012 ne December 2013 batuuza enkiiko mu bifo ebyenjawulo okuli Kampala, Wakiso, Masaka, Jinja, Nakasongola ne Ntoroko n’ekigendererwa eky’okuvunika gavumenti wabula bonna begaanye emisango egyo.
Ssentebbe Lt. Gen. Gutti ayongezaayo omusango gwo okutuusa nga 24, April, 2018 oludda oluwaabi okutandiika okusabukulula obujjulizi kuba bakomekereza okunoonyereza era basindikiddwa mu kkomera ly’amaggye e Makindye.
Kinnajjukirwa mu 2012 nga Kipoi ng’akyali mu Palamenti ng’omubaka we Bubulo West yakwatibwa ku bigambibwa nti yali awandisiza abavubuka okuva mu DRC ne Uganda okuvunika Gavumenti era yagulwako ogw’okulya mu nsi olukwe.
Kipoi yayimbulwa ku kakalu ka kkooti kyokka nadukira mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo gy’abadde yekwese okutuusa lwe yakwatiddwa mu ggwanga erya Botswana mu Febwali.
