Kkooti enkulu e Mukono esindise abasajja 2 mu nkomyo okusibwa emyaka 40 lwa kusaddaka muntu. Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Janat Kitimbo, 29, November, 2016, Edward Odoi, 67 ne Margret Nampijja myaka 22 abatuuze ku kyalo Ntonto, Seeta Namuganga mu Disitulikiti y’e Mukono bekobaana ne basaddaka neyiba wabwe Yurita Namata, 60 nga bamulumiriza ebikolwa […]
Kkooti enkulu e Mukono esindise abasajja 2 mu nkomyo okusibwa emyaka 40 lwa kusaddaka muntu.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Janat Kitimbo, 29, November, 2016, Edward Odoi, 67 ne Margret Nampijja myaka 22 abatuuze ku kyalo Ntonto, Seeta Namuganga mu Disitulikiti y’e Mukono bekobaana ne basaddaka neyiba wabwe Yurita Namata, 60 nga bamulumiriza ebikolwa eby’obulogo n’obusezi.
Namata kati omugenzi, omubiri gwe gwasangibwa nga gusuuliddwa mu kasiko nga gusaliddwako omutwe, olulima ng’obwongo butwaliddwa.
Wabula omulamuzi Margret Mutonyi bw’abadde awa ensala ye agambye nti basibiddwa emyaka 40 kuba tewali muntu yenna alina buvunanyizibwa kutwala bulamu bwa muntu mulala yenna.
