Poliisi ekutte Dereeva eyatta omusirikale wa tulafiki ku luguudo lwa Kabakanjagala-Nabunya e Rubaga nga 3, March, 2018. Omusirikale Corporal Wilfred Tweituk okuva ku Old Kampala, yatomerwa baasi okuva mu Divine Coaches, nafirawo bwe yali ali ku mirimu gye kyoka Dereeva eyali avugga baasi naduuka. Omukwate Godfrey Kakonge yasangiddwa nga yekukumye mu bitundu bye Kyetume Kyazanga […]
Poliisi ekutte Dereeva eyatta omusirikale wa tulafiki ku luguudo lwa Kabakanjagala-Nabunya e Rubaga nga 3, March, 2018.

Omusirikale Corporal Wilfred Tweituk okuva ku Old Kampala, yatomerwa baasi okuva mu Divine Coaches, nafirawo bwe yali ali ku mirimu gye kyoka Dereeva eyali avugga baasi naduuka.

Omukwate Godfrey Kakonge yasangiddwa nga yekukumye mu bitundu bye Kyetume Kyazanga nga yefudde omugwira era omusango gwe guli fayiro namba TSD 25/9/03/2018 era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
