Poliisi mu disitulikiti y’e Kyegeggwa ekutte abantu 2 ku bigambibwa nti babadde begumbulidde okubba emmere ya babundabunda mu nkambi ya Kyaka 11 esangibwa mu kitundu ekyo. Okusinzira kw’aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Kyegeggwa, Benon Byamukama abakwattiddwa babadde batwala ebintu ebyenjawulo omuli ensawo z’obuwunga, ebidomola bya butto, ebijanjalo era okwatibwa kigenda kuwa Poliisi omwagaanya, okusanyawo akabinja […]
Poliisi mu disitulikiti y’e Kyegeggwa ekutte abantu 2 ku bigambibwa nti babadde begumbulidde okubba emmere ya babundabunda mu nkambi ya Kyaka 11 esangibwa mu kitundu ekyo.
Okusinzira kw’aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Kyegeggwa, Benon Byamukama abakwattiddwa babadde batwala ebintu ebyenjawulo omuli ensawo z’obuwunga, ebidomola bya butto, ebijanjalo era okwatibwa kigenda kuwa Poliisi omwagaanya, okusanyawo akabinja kabwe.
Kyoka Resident District Commissioners (RDC) w’ekitundu ekyo, Mary Nyakweera agambye nti abasuuka mu 10 bebakakwatibwa mu kikwekweto kino ku by’okubba era ababbi batataganyiza nnyo entekateeka za Gavumenti.
