NAYE LWAKI! Sipiika asobeza ku mwana myaka 10, asindikiddwa mu kkomera ng’ali mu maziga

©GALAXY

Sipiika w’e goombolola y’e Rubaare, Ntungamo asindikiddwa ku limanda mu kkomera ku musango gw’okusobya ku muwala we myaka 10 kyoka namusiiga sirimu. Sipiika Theodore Asiimwe abadde ekozesa muwala we buli lunnaku nga mukyala we taliwo ng’omwana amutwala nti wanjawulo nnyo okusinga ku baana be abalala. Omwana abadde mu maziga agamba nti kitaawe amukozeesa emirundi 8 […]


Sipiika w’e goombolola y’e Rubaare, Ntungamo asindikiddwa ku limanda mu kkomera ku musango gw’okusobya ku muwala we myaka 10 kyoka namusiiga sirimu.

Sipiika Theodore Asiimwe abadde ekozesa muwala we buli lunnaku nga mukyala we taliwo ng’omwana amutwala nti wanjawulo nnyo okusinga ku baana be abalala.

Omwana abadde mu maziga agamba nti kitaawe amukozeesa emirundi 8 nga n’omulundi ogusembyeyo yamukwatidde kumpi ne kabuyonjo gye yabadde aduukidde okwewala ekibambulira.

Omwana yasobodde okutegeza ku nnyina era maama yakutte omwana namutwala mu ddwaliro ng’ali ne Poliisi era kyagenze okuzuula ng’omwana alina mukenenya.

Omulamuzi wa kkooti ento Nasur Magomu takirizza sipiika Asiimwe kwewozaako kuba omusango gwe gwa nnaggomola era asindikiddwa ku limanda mu kkomera lye Ntungamo okutuusa nga 18, April, 2018.