TUBAWONYE! Poliisi ekutte abatujju ba ADF e Kasese, bawolomye nga babakwata

©GALAXY

Poliisi y’e Kasese ekutte abantu babiri (2) nga bateeberezebwa nti batujju bakabinja ka Allied Democratic Forces (ADF). Abakwattiddwa basaangiddwa ku kyalo Mpondwe ku nsalo eyawula Uganda ne Democratic Republic of the Congo. Okusinzira ku muduumizi wa Poliisi mu bitundu bya Rwenzori East, Ceaser Julius Tusingwire, abasajja abakwattiddwa bagenda kuleetebwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala […]


Poliisi y’e Kasese ekutte abantu babiri (2) nga bateeberezebwa nti batujju bakabinja ka Allied Democratic Forces (ADF).

Abakwattiddwa basaangiddwa ku kyalo Mpondwe ku nsalo eyawula Uganda ne Democratic Republic of the Congo.

Okusinzira ku muduumizi wa Poliisi mu bitundu bya Rwenzori East, Ceaser Julius Tusingwire, abasajja abakwattiddwa bagenda kuleetebwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala bongera okubakunya n’okwongera okunoonyereza.

Abatujju ba ADF baludde nga batawaanya eggwanga lino, mu 1998 abayizi 30 okuva ku Mitandi Seventh Day Adventist College e Kasese bawambibwa.

Mu 1998 balumba omukyala mu disitulikiti y’e Bundibugyo ne bamusalako ennyindo n’amatu.