Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga erya Rwanda, Paul Kagame enkya ya leero ku Ssande agenda kukyalirako mukulu munne Yoweri Kaguya Museveni owa Uganda mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe. Okusinzira ku mawulire agafuniddwako omukutu gunno, abakulembeze bombi bagenda kuteesa ku nsonga ezenjawulo ezigenda okutambuza amawanga gabwe omuli eby’obusuubuzi, ebyokwerinda n’ensonga endala. Ensisikano eno, kabonero akagala nti abakulembeze bombi […]
Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga erya Rwanda, Paul Kagame enkya ya leero ku Ssande agenda kukyalirako mukulu munne Yoweri Kaguya Museveni owa Uganda mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe.
Okusinzira ku mawulire agafuniddwako omukutu gunno, abakulembeze bombi bagenda kuteesa ku nsonga ezenjawulo ezigenda okutambuza amawanga gabwe omuli eby’obusuubuzi, ebyokwerinda n’ensonga endala.
Ensisikano eno, kabonero akagala nti abakulembeze bombi bakyakwatagana nga baneyiba wadde bangi ku bannansi babadde bagamba nti abakulembeze ababiri (Museveni ne Kagame) balina obutakanya.
