Museveni, Kagame basambazze ebyogerwa nti waliwo embiranye wakati wa Uganda ne Rwanda

©GALAXY

Omukulembeze w’eggwanga lya Rwanda Paul Kagame n’owa Uganda Yoweri Kaguta Museveni basambaze ebigambibwa nti waliwo embiranye wakati w’amawanga ge bakulembera. Bano abasisinkanye olunnaku olw’eggulo mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe era baategeezezza bannamawulire nti bagenda okuttukiza enkolagana y’ebitongole ebikessi mu mawanga gombi okumalawo okunenengana mu ntambuza y’emirimu. Ku ky’okutebenkeza Africa, ssentebbe w’omukago ogutaba amawanga agali mu […]


Omukulembeze w’eggwanga lya Rwanda Paul Kagame n’owa Uganda Yoweri Kaguta Museveni basambaze ebigambibwa nti waliwo embiranye wakati w’amawanga ge bakulembera.

Ebyavadde mu State House
Ebyavadde mu State House

Bano abasisinkanye olunnaku olw’eggulo mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe era baategeezezza bannamawulire nti bagenda okuttukiza enkolagana y’ebitongole ebikessi mu mawanga gombi okumalawo okunenengana mu ntambuza y’emirimu.

Ebyavadde mu State House
Ebyavadde mu State House

Ku ky’okutebenkeza Africa, ssentebbe w’omukago ogutaba amawanga agali mu Africa, Kagame agambye nti bbo abakulembeze balina okusitukiramu okulwanyisa obutabanguko obuli mu mawanga agenjawulo n’okusingira ddala erya Democratic Republic of the Congo kuba kitataganya ebyenkulakulana.