Poliisi esobeddwa olwa batemu abegumbulidde okuwamba abantu oluvanyuma ne battibwa. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima, omuwala Charity Kyohirwe 32 abadde omutuuze ku kyalo Masajja mu goombolola y’e Makindye, Kampala, yawambibwa ku lunnaku olwokuna nga 22, March, 2018 kyoka omulambo gwe, gwazuliddwa ku kyalo Kabaawo, Mutundwe mu goombolola y’e Rubaga, Kampala ku […]
Poliisi esobeddwa olwa batemu abegumbulidde okuwamba abantu oluvanyuma ne battibwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima, omuwala Charity Kyohirwe 32 abadde omutuuze ku kyalo Masajja mu goombolola y’e Makindye, Kampala, yawambibwa ku lunnaku olwokuna nga 22, March, 2018 kyoka omulambo gwe, gwazuliddwa ku kyalo Kabaawo, Mutundwe mu goombolola y’e Rubaga, Kampala ku lunnaku Olwomukaaga nga 24, March, 2018.

Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigire, abawaamba Kyohirwe baasaba obukadde 5 obwa Uganda okuva eri ab’enganda nga tebalina nsimbi ekyavirako omuwala okuttibwa.
Mungeri y’emu agambye nti okunoonyereza kuraga nti omuwala bamutugga bambi n’afa era omulambo gwatwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa oluvanyuma ne gukwasibwa ab’enganda, ab’emikwano okutekateeka okuziika.
Omugenzi Kyohirwe abadde alina Restaurant and Takeaway e Masajja ku lw’Entebbe era mbu ab’enganda babadde bawaddeyo ensimbi ezimu.
Poliisi egamba nti atandiise okunoonyereza era egenda kwatagana n’ebitongole ebyenjawulo omuli Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya ekya Uganda Communication Commission (UCC), amakampuni g’amasimu, National Identification Registration Authority (NIRA) n’ebitongole ebirala.
Kinnajjukirwa n’omukyala Susan Magara naye yawambibwa oluvanyuma nattibwa era omulambo gwe gwasulibwa e Kigo ku lw’ENtebbe Kampala Expressway nga 27, Febwali, 2018.
