Ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) e Lubaga era akulembera akabinja ka Bodaboda 2010, Abdullah Kitatta enkya ya leero (lwakubiri) asubirwa mu kkooti y’amaggye e Makindye gy’agenda okuteeka okusaba kweyimirirwa asobole okwewozaako ku misango egimuvunanibwa ng’ava bweru wa kkomera. Kitatta avunanibwa ne banne 12 okuli Sowali Ngobi, Amon Twinomujuni, Joel Kibirige, Matia Ssenfuka, Hassan […]
Ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) e Lubaga era akulembera akabinja ka Bodaboda 2010, Abdullah Kitatta enkya ya leero (lwakubiri) asubirwa mu kkooti y’amaggye e Makindye gy’agenda okuteeka okusaba kweyimirirwa asobole okwewozaako ku misango egimuvunanibwa ng’ava bweru wa kkomera.
Kitatta avunanibwa ne banne 12 okuli Sowali Ngobi, Amon Twinomujuni, Joel Kibirige, Matia Ssenfuka, Hassan Ssebata, John Kayondo, Hassan Ssengooba, Sunday Ssemogerere, John Ssebandeke, Hussein Mugema, Fred Bwanika ne Ibrahim Ssekajja emisango egyenjawulo omuli okusangibwa n’ebintu by’amaggye omuli ebyambalo n’engatto, okusangibwa ne sitoowa y’ebintu y’ebyokulwanyisa emmundu, amasasi n’emisango emirala.
Wabula wadde ayagala okusaba okweyimirirwa, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Maj Raphael Mugisha lwategeza dda ssentebbe wa kkooti Lt. Gen. Andrew Gutti nti bbo, bakomekereza okunoonyereza kwabwe era betegefu okulumiriza abakwatibwa era kkooti yalangirira, nga 23, April, 2018 okutandiika okuwulira omusango gwabwe.
Kitatta yakwatibwa mu Janwali ne banne aba bodaboda 2010 mu kikwekweeto eky’amaggye oluvanyuma lw’okukwata muganda we Huzairu Kiwalabye ku bigambibwa nti yalina omukono ku nfa ya Francis Ekalungar eyali omubazi w’ebitabo bya Case hospital mu Kampala era omulambo gwe gwasangibwa nga gwokeddwa ebbali w’ekkubo mu bitundu bye Kajjansi ku lw’ENtebbe era mu kiseera kino ali mu kkomera ly’amaggye e Makindye ate banne bali ku Limanda mu kkomera e Luzira.
