Poliisi y’e Masindi atandiise okunoonyereza ku musirikale eyakubye omwana esasi mu kisambi era mu kiseera ali mu kujanjabwa mu ddwaliro ekkulu e Masindi. Kigambibwa omwana Rajab Baguma asoma S3, yatolose okuva ku ssomero ku Mmande ekiro, n’agenda okukuba endongo mu katawuni k’e Masindi, kyoka mu kudda, yakubiddwa esasi mu kisimba bwe yabadde agezaako okubuuka ekikomera […]
Poliisi y’e Masindi atandiise okunoonyereza ku musirikale eyakubye omwana esasi mu kisambi era mu kiseera ali mu kujanjabwa mu ddwaliro ekkulu e Masindi.
Kigambibwa omwana Rajab Baguma asoma S3, yatolose okuva ku ssomero ku Mmande ekiro, n’agenda okukuba endongo mu katawuni k’e Masindi, kyoka mu kudda, yakubiddwa esasi mu kisimba bwe yabadde agezaako okubuuka ekikomera okuyingira mu ssomero gyasula.
Omusirikale okuva mu kitongole ekikuumi eky’obwannannyini, yakubye Baguma esasi ng’amutebereza nti y’omu ku babbi abagala okutigomya essomero nga yeyambisa emmundu ya AK47, oluvanyuma nadduka.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine, Julius Hakiza, agambye nti, Poliisi etandiise okunoonyereza lwaki omusirikale yakubye omwana, oluvanyuma nadduka, kyoka emmundu yalekeddwa.
Ate omukulu w’essomero Innocent Kamugisha, agambye nti ensonga zonna, bazirekedde Poliisi, okunoonyereza ku nsonga eyo.
