BAWEDDE! Poliisi ekutte 4 ku batigomya Kampala, bakabidde mu kaduukulu

©GALAXY

Poliisi ekutte abantu 4 lwa kutigomya abatuuze mu goombola y’e Kiira. Abakwattiddwa kuliko Umar Mirembe, Timothy Kamanzi, Brian Odoi ne Denis Okoth nga bateberezebwa okulemberamu okutigomya abatuuze. Okwattibwa, kidiridde Poliisi okufuna amawulire nti waliwo akabinja k’abantu, abatigomya abantu n’okusingira ddala obudde obw’ekiro nga banyaga buli kantu omuli amassimu, okunyakula essaawo z’abakyala n’okunywa enjaga. Ku nsonga […]


Poliisi ekutte abantu 4 lwa kutigomya abatuuze mu goombola y’e Kiira.

Abakwattiddwa kuliko Umar Mirembe, Timothy Kamanzi, Brian Odoi ne Denis Okoth nga bateberezebwa okulemberamu okutigomya abatuuze.

Okwattibwa, kidiridde Poliisi okufuna amawulire nti waliwo akabinja k’abantu, abatigomya abantu n’okusingira ddala obudde obw’ekiro nga banyaga buli kantu omuli amassimu, okunyakula essaawo z’abakyala n’okunywa enjaga.

Ku nsonga eyo, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire agambye nti Poliisi, ekyagenda mu maaso n’ebikwekweeto okwata abantu abatigomya abatuuze.

Mungeri y’emu agambye nti abakwattiddwa bakiriza eky’okutigomya abatuuze era batemera mu gy’obukulu 18 kwa 30.

(Ekifaananyi kya Nile Post)