Poliisi mu Kampala erina abantu abasuuka mu 200 mu budukulu obwenjawulo, nga bakwattiddwa mu bikujjuko bya Paasika, okuvira ddala ku lunnaku olwokutaano mu kutambuza omusalaba. Abakwatibwa ku Lwokutaano, abasuuka 40 nga bano befuula abakiriza mu kutambuza omusalaba okuva ku makanisa agenjawulo okuli Rubaga, Nsambya, Mbuya, Namirembe, Kansanga ne Kampala Mukadde, kyoka ne badda mu kukwata […]
Poliisi mu Kampala erina abantu abasuuka mu 200 mu budukulu obwenjawulo, nga bakwattiddwa mu bikujjuko bya Paasika, okuvira ddala ku lunnaku olwokutaano mu kutambuza omusalaba.
Abakwatibwa ku Lwokutaano, abasuuka 40 nga bano befuula abakiriza mu kutambuza omusalaba okuva ku makanisa agenjawulo okuli Rubaga, Nsambya, Mbuya, Namirembe, Kansanga ne Kampala Mukadde, kyoka ne badda mu kukwata mu nsawo okunyaga amassimu, ensawo z’abakyala, ensimbi enkalu n’ebintu ebirala.
Abalala kuliko aba bodaboda abasangiddwa nga bali ku nguudo nga bavuga kyoka nga batamidde n’abasangiddwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo nga basala ensawo, okubba, okusuula emisanvu mu nzigota ne banyaga.
Ku nsonga eyo, omuduumizi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Frank Mwesigwa agambye nti olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri, abakwattiddwa batwalibwa mu kkooti ku misango egyenjawulo.
