Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago avumiridde ekya Gavumenti okulangirira okuteeka omusolo ku mikutu egyenjawulo okuli Facebook, WhatsApp n’emirala. Lukwago asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book era agambye nti emisolo egigibwa ku bantu gigendereddwamu okukumira Gavumenti ya NRM mu buyinza wabula ssi kuwereza bannayuganda. Mungeri y’emu agambye nti singa Facebook, WhatsApp bateekako emisolo, […]
Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago avumiridde ekya Gavumenti okulangirira okuteeka omusolo ku mikutu egyenjawulo okuli Facebook, WhatsApp n’emirala.

Lukwago asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book era agambye nti emisolo egigibwa ku bantu gigendereddwamu okukumira Gavumenti ya NRM mu buyinza wabula ssi kuwereza bannayuganda.
Mungeri y’emu agambye nti singa Facebook, WhatsApp bateekako emisolo, kabonero akalaga nti n’abantu abatambuza ebigere mu Kampala bagenda kubagyako omusolo gye bujja.
Lukwago mu Lungereza asobodde okulambulula ensonga ze “That’s how costly it is to sustain a predatory government in power. Next is a “pedestrian tax” to be imposed on people walking on the roads in the Greater Kampala Metropolitan Area!. Banana Republic indeed”.
Kinnajjukirwa nti omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yalagidde minisitule y’ebyensimbi n’ekitongole ekisoloza omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) okulowooza ku ky’okuteeka omusolo ku Facebook, WhatsApp kuba kigenda kuyamba nnyo Gavumenti okufuna ensimbi okutambuza emirimu.
