OH GOD! Poliisi ezudde ekiwandiiko ekitiisa, abatuuze abasuuka 20 balindiriddwa ku batematema e Masaka

©GALAXY

Poliisi y’e Masaka etandiise okunoonyereza ekiwandiiko, ekyasuliddwa ku kyalo Katwe, mu goombolola y’e Katwe mu Disitulikiti y’e Ssembabule nga kirabula okulumba abatuuze essaawa yonna. Ekiwandiiko kiro kitwala omunaku kyasuliddwa okumpi ne Poliisi y’e Katwe nga kiriko amannya g’abatuuze 26 abalina okuwaayo ssente buli omu oba okulumbibwa okutemwatemwa. Wabula omwogezi wa Poliisi mu bendobendo lye Masaka […]


Poliisi y’e Masaka etandiise okunoonyereza ekiwandiiko, ekyasuliddwa ku kyalo Katwe, mu goombolola y’e Katwe mu Disitulikiti y’e Ssembabule nga kirabula okulumba abatuuze essaawa yonna.

Ekiwandiiko kiro kitwala omunaku kyasuliddwa okumpi ne Poliisi y’e Katwe nga kiriko amannya g’abatuuze 26 abalina okuwaayo ssente buli omu oba okulumbibwa okutemwatemwa.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bendobendo lye Masaka (Greater Masaka) Lameck Kigozi agambye nti Poliisi eyongedde okunyweza ebyokwerinda okutangira omuntu yenna ayinza okulumbagana abatuuze.

Mungeri y’emu agambye nti okutumbula enkolagana wakati wa Poliisi n’omuntu wa buligyo, kye kigenda okuyamba okulwanyisa abakyamu abagala okuddamu okulemesa abantu okutambuza emirimu gyabwe.

Kinnajjukirwa omwaka oguwedde ogwa 2017, abatuuze bangi mu bitundu bye Masaka battibwa nga batemeddwa ebiso era abatemu basooka kusuula biwandiiko okulabula okulumba oba okuwaayo ensimbi okusimatuuka okutemwatemwa.