Poliisi ekutte omusawo w’ekinnansi ku mwana asangiddwa ng’asaddaakiddwa mu disitulikiti y’e Lamwo. Omusawo akwattiddwa, munnansi wa South Sudan era ali mu kaduukulu ka Poliisi ku Lamwo Central Police Station. Omwana attiddwa myaka 2, abadde mugwira mu ggwanga lino Uganda okuva mu ggwanga erya South Sudan nga yabula nga 21, march, 2018 kyoka omulambo gwe, gusangiddwa […]
Poliisi ekutte omusawo w’ekinnansi ku mwana asangiddwa ng’asaddaakiddwa mu disitulikiti y’e Lamwo.
Omusawo akwattiddwa, munnansi wa South Sudan era ali mu kaduukulu ka Poliisi ku Lamwo Central Police Station.

Omwana attiddwa myaka 2, abadde mugwira mu ggwanga lino Uganda okuva mu ggwanga erya South Sudan nga yabula nga 21, march, 2018 kyoka omulambo gwe, gusangiddwa mu nsiko okumpi ne nkambi ya babundabunda eya Palabek Ogili.
Okusinzira ku Poliisi, omusawo w’ekinaansi abadde yasuubiza okutaasa omwana n’okuzuula gyaali singa bamuwa ssente zayagala.
Wabula ssentebbe wa LC ey’okusatu mu kitundu ekyo, Christopher Omal agambye nti omulambo gw’omwana gulaga nti yasaddakiddwa era abakikoze bonna balina okwattibwa.
