KIGAANYE! Kirumira azitooweredde Poliisi, eremeddwa okuwa ensala yaayo ku misango egimuvunaanibwa

©GALAXY

Kkooti ya Poliisi ekwasiza empisa etuula ku kitebe kya Poliisi e Naguru n’enkya ya leero eyongezaayo okuwa ensala yaayo ku misango egivunanibwa eyali aduumira Poliisi y’e Buyende Mohammed Kirumira. Kirumira amangu ddala ng’alangiridde nti akyuse emirimu gya Poliisi olw’embeera emulemesa okutambuza emirimu gye nga 31, Janwali, 2018, oluvanyuma yakwattibwa okuva mu maka ge mu bitundu […]


Kkooti ya Poliisi ekwasiza empisa etuula ku kitebe kya Poliisi e Naguru n’enkya ya leero eyongezaayo okuwa ensala yaayo ku misango egivunanibwa eyali aduumira Poliisi y’e Buyende Mohammed Kirumira.

Kirumira amangu ddala ng’alangiridde nti akyuse emirimu gya Poliisi olw’embeera emulemesa okutambuza emirimu gye nga 31, Janwali, 2018, oluvanyuma yakwattibwa okuva mu maka ge mu bitundu bye Bulenga kyoka wadde yayimbulwa ku kakalu ka kkooti, yavunanibwa emisango mingi ddala.

Ku misango emingi egyamugulwako mwemuli n’okubba Chapati y’amaggi (Rolex) oluvanyuma gwe yawangula.

Mu kiseera kino alina emisango mingi ddala omuli okweyambisa mu bukyamu woofiisi ye, okulya enguzi n’emisango emirala.

Enkya ya leero, kkooti ya Poliisi ebadde esuubirwa okuwa ensala yaayo nga bwe yali asuubiza kyoka ssentebbe wa kkooti Dennis Odongpiny ayongezaayo okutuusa ku Lwokubiri lwa wiiki ejja nga 10, April, 2018.

Ssentebbe Odongpiny okwongezaayo agambye nti omu ku bannabwe taliwo nga tebayinza kuwa nsala yabwe nga bateekeddwa okulinda wiiki ejja.