MULEMESA! Omussomesa abadde abojjerera omwana gw’asomesa akwattiddwa, asangiddwa mu loogi ng’afunya omugongo

©GALAXY

Poliisi y’e Ibanda ekutte omussomesa atemera mu myaka 30 ku by’okusobya ku mwana atanetuuka. Charles Rutaremwa, omussomesa ku Kamwenge College School mu goombolola y’e Ganyenda mu disitulikiti y’e Kamwenge yakwattiddwa, ng’asangiddwa mu loogi mu katawuni k’e Ibanda n’omuwala atemera mu myaka 16 ku ssomero gy’ assomesa era basuze bombi. Omussomesa mutuuze ku kyalo Kichwamba mu […]


Poliisi y’e Ibanda ekutte omussomesa atemera mu myaka 30 ku by’okusobya ku mwana atanetuuka.

Charles Rutaremwa, omussomesa ku Kamwenge College School mu goombolola y’e Ganyenda mu disitulikiti y’e Kamwenge yakwattiddwa, ng’asangiddwa mu loogi mu katawuni k’e Ibanda n’omuwala atemera mu myaka 16 ku ssomero gy’ assomesa era basuze bombi.

Omussomesa mutuuze ku kyalo Kichwamba mu goombolola y’e Ntara mu disitulikiti y’e Kamwenge era okwattibwa kidiridde abatuuze okutemya ku Poliisi.

Wabula aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Ibanda Rodgers Chebene agambye nti enkolagana enungi wakati wa Poliisi n’omuntu wa buligyo y’emu ku nsonga lwaki omussomesa akwattiddwa olw’abatuuze okubatemyako.

Mungeri y’emu agambye nti omussomesa, ogw’okusobya ku baana gubadde mulimu gwe, okusinzira ku batuuze era Poliisi etandiise okunoonyereza.