Omubaka wa Munisipaali ya Mukono mu Palimenti, Betty Nambooze Bakireke alabudde abatuuze ku byalo ebyenjawulo omuli Kitega, Kikooza, Wantoni n’ebiriranyeewo okwewala okunywa kazaambi kuba y’emu ku nsonga lwaki endwadde enkambwe zeyongedde mu kitundu kyabwe. Nambooze agamba nti abatuuze bangi beyambisa amazzi agavudde mu nzizi kyoka gonna gajjudde kazaambi ng’abatuuze balina okugeewala. Mungeri y’emu agambye nti […]
Omubaka wa Munisipaali ya Mukono mu Palimenti, Betty Nambooze Bakireke alabudde abatuuze ku byalo ebyenjawulo omuli Kitega, Kikooza, Wantoni n’ebiriranyeewo okwewala okunywa kazaambi kuba y’emu ku nsonga lwaki endwadde enkambwe zeyongedde mu kitundu kyabwe.
Nambooze agamba nti abatuuze bangi beyambisa amazzi agavudde mu nzizi kyoka gonna gajjudde kazaambi ng’abatuuze balina okugeewala.
Mungeri y’emu agambye nti wadde amazzi gafumbiddwa bulungi, abatuuze bangi nnyo abakozesa amazzi nga tegafumbiddwa okusenya amannyo, okwoza ebintu omuli amasowaani, ebikopo, ekiraga nti kazaambi asigalako.
Asabye abatuuze bamwegateko okusaba ekitongole kya mazzi ekya National water and sewage corporation okufuna amazzi amayonjo ate ku bbeeyi eya wansi okusinga okulwala ne batwala ssente mu malwaliro.
