Poliisi y’e Jinja etandiise okunoonyereza ku mmundu eyasangiddwa mu kabuyonjo ku kyalo Idogolo mu Goombolola y’e Mafubira. Okusinzira kw’aduumira Poliisi mu kitundu ekyo ASP Rasur Anguyo, emmundu ekika 47 ne Magaziini 3, byabadde mu kabuyonjo y’omutuuze omu era Poliisi yatemezeddwako omutuuze Kafufu Katibu eyabadde egenze okweyamba. DPC Anguyo era agambye nti emmundu, kirabika erudde mu […]
Poliisi y’e Jinja etandiise okunoonyereza ku mmundu eyasangiddwa mu kabuyonjo ku kyalo Idogolo mu Goombolola y’e Mafubira.
Okusinzira kw’aduumira Poliisi mu kitundu ekyo ASP Rasur Anguyo, emmundu ekika 47 ne Magaziini 3, byabadde mu kabuyonjo y’omutuuze omu era Poliisi yatemezeddwako omutuuze Kafufu Katibu eyabadde egenze okweyamba.
DPC Anguyo era agambye nti emmundu, kirabika erudde mu kabuyonjo, okumala ebbanga erisukka myeezi 5 kuba esangiddwa ng’etandiise okutalagga.
Mu kiseera kino, tewali muntu yenna yakwattiddwa kyoka Poliisi etandiise okunoonyereza.
Wabula DPC Anguyo akoowodde abatuuze okwatagana ne Poliisi okulwanyisa abantu abakyamu abali mu kitundu kyabwe.
