Abantu basatu (3) bafiridde mu kabenje enkya ya leero e Lwanyonyi mu Disitulikiti y’e Mukono. Abafudde babadde ku bodaboda era okusinzira ku berabiddeko n’agaabwe, bodaboda eyingiridde bbaasi namba UAX002A okuva mu kampuni ya Gateway coaches Ltd, ebadde eva e Kampala okudda e Mbale. Abafudde bonna babadde ku bodaboda nga bava ku ssundiro ly’amafuta erya Igar […]
Abantu basatu (3) bafiridde mu kabenje enkya ya leero e Lwanyonyi mu Disitulikiti y’e Mukono.
Abafudde babadde ku bodaboda era okusinzira ku berabiddeko n’agaabwe, bodaboda eyingiridde bbaasi namba UAX002A okuva mu kampuni ya Gateway coaches Ltd, ebadde eva e Kampala okudda e Mbale.
Abafudde bonna babadde ku bodaboda nga bava ku ssundiro ly’amafuta erya Igar petrol station mu katawuni k’e Mukono.
Okusinzira ku Poliisi, abafudde kuliko Brian Mugoyo, Alozious Mbogo n’omulala atanamanyika bimukwatako nga bonna babadde batuuze b’e Nazigo, Seeta mu disitulikiti y’e Mukono.
Ate akulira Poliisi y’ebiduuka ku Poliisi y’e Mukono Moses Sonko, agambye nti akabenje kavudde ku kuvugisa kimama.
Emirambo gitwaliddwa mu gwanika ly’eddwaliro e Mulago ng’okunoonyereza wekugenda mu maaso.